Mirembe King Saha Lyrics

Intro
Hmmm
Mirembe, Mirembe yeggwe maama gwe ndowooza
Buli kadde gwe nnonooza
Bwe neebaka ekiro nkuloota
Verse 1
Mirembe Mirembe olijjako ddi eno gye nsula?
Eno ewange gye nsula
Olabe ku birungi bye nkola
Mirembe oliwa, omutima guluma
Mbuulira nkwetondere
Oba eriyo kye nakkola ah
Mirembe nga nkwesunze, aah
Mirembe nze n’amaaso gammyuse ah
Mirembe oli wa bbula nga ssente aah
Nze bwe ndikufuna osaana seŋŋenge
Chorus
Nkunoonya na nju ku nju
Mirembe eeh
Bambi jangu mangu
Mirembe eeh
Gwe yamba totta muntu
Mirembe eeh
Nkunoonya na nsi ku nsi
Mirembe eeh
Verse 2
Nandibadde ngezze naye maama Mirembe ono
Ensi yonna enoonya naye talabika Mirembe ono
Fenna ne twetala nga tukunoonya Mirembe eh (Mirembe)
Labikako bambi tuwe chance Mirembe gwe
Chorus
Nkunoonya na nju ku nju
Mirembe eeh
Bambi jangu mangu
Mirembe eeh
Gwe yamba totta muntu
Mirembe eeh
Nkunoonya na nsi ku nsi
Mirembe eeh
Bridge
Nkunoonyeza mu camera (Mirembe)
Tuli mu nzikiza (Mirembe)
Njagala kkulaba (Mirembe)
Njagala kkaaba (Mirembe)
Nkwagala okkamala (Mirembe)
Tukwagala okkamala (Mirembe)
Nzija ne file (Mirembe)
Biggwera ku bayiro (Mirembe)
Bwe ndiba nkufunye Mirembe, ndayira
Ekyo ndiba nkimaze Mirembe aaah
Bwe ndiba nkulabye Mirembe aah
Bano ndiba mbawonye Mirembe, kuba bafuga
Oluyimba lwo ndufunye Mirembe lwe tunaayimba
Ndiba nkufunye nga tuli mu ssanyu nga twabawona
Nga umbrella nfunye Mirembe, ntidde obudde
Njagala nkulabe Mirembe, byonna mbiggambe
Chorus (Repeat)
Nkunoonya na nju ku nju
Mirembe eeh
Bambi jangu mangu
Mirembe eeh
Gwe yamba totta muntu
Mirembe eeh
Nkunoonya na nsi ku nsi
Mirembe eeh
Outro
Nze bwe ndiba nkufunye
Mirembe eeeh
Ekyo ndiba nkimaze
Mirembe eeeh
Bwe ndiba nkulabye
Mirembe eeeh
Mirembe eeeh
Labika nfune obulamu
Mirembe eeeh
Gwe agaba obulamu
Mirembe eeeh
Weekwese wa mukwano?
Mirembe eeeh
Ng’emiranga mingi eno!
Mirembe eeeh







